Abayizi be Makerere basatu abagambibwa okutta munaabwe David Ojok basindikiddwa mu kkooti enkulu bawerenembe n’emisango
Omulamuzi wa kkooti ento eya Buganda road Esther Nahirya okuindika bano mu kkooti enkulu ng’agoberera biragiro bya ssabawaabi wa gavumenti
Ebiwandiiko bya sabawaabi biraga nti okunonyereza kwawedde nga kati byonna bisindikiddwa mu kkooti enkulu kubanga emisango gyebaliko gyanaggomola.
Akiikiridde ssabawaabi wa gavumenti Esther Narungi y’aleese ebiwandiiko bino.
Oludda oluwaabi lugamba nti abayizi be Makerere bano nga bonna baali basula mu kisulo kya Nkrumah baakuba muyizi munaabwe okukkakkana nga bamusse nga bamuyita omubbi
Abavunaanibwa kuliko Marvin Mutungi eyali akulira ekisulo kya Nkrumah , Ivan Atukwaase ne Derrick Wagooli era ng’emisango bagizza mu mwezi gw’okuna omwaka guno.