Poliisi enzinyamotto wamu n’ebalubbira baayo banyuludde omulambo gw’omusajja abadde agudde mu kidiba ekisenebwamu amazzi
Kiteberezebwa nti ono yabbira ennaku satu emabega
Poliisi e Mubende ekulembeddwamu akulira okuzikiriza omuliro John Ogogogongo basabye abantu okubayambako kubanga omuntu abadde tamanyiddwa ku kitundu era ng’ono wakubiri okufiira mu kidiba kino .
Abatuuze mu kitundu kino aboogeddeko n’omukutu guno, bagambye nti omulambo gw’omusajja ono abadde tamanyiddwa ku kitundu guzuuliddwa abayizi b’essomero era poliisi ebadde ekulembeddwamu Afande John Kyaligonza egututte mu ggwanika e Mubende.