Bya Benjamin Jumbe,
Ssabasumba wéssaza ekkulu erya Kampala, Dr Cyprian Kizito Lwanga afudde.
Amawulire gano gakakasiddwa ekelezia katolika
Mu kiwandiiko ekifulumizidwa, Kyansala we ssaza lya Kampala, Fr Pius Male Ssentumbwe atubuulidde nti ssabasumba asangibwa mu makage nga mufu
Fr Ssentumbwe agambye nti entekateeka ezokusibula omugenzi zakulangirirwa mu maaso
Ssabasumba Lwanga yasembye okulabwako mu lujudde olunaku lweggulo, mu kutambuza ekkubo lyomusaalaba e Namirembe
Bino bye bimu ku bigambo bye gyeyasembyo okwogera, mu kuvumirira ebikolwa ebyokuwamba nokutulugunya bannauganda.