Bya Ivan Ssenabulya
Abakulira ekibiina kya DP mu ttundutundu lya Greater Mukono bekebyekebye eddimu okugatta ebiwayi ebiri mu kibiina olwenjawukana eziva waggulu.
Bano basubirwa okubeera nokwegatta kwabaliko mu UYD nga 27th omwezi guno ku Festino, wabulanga ssenkaggale wa DP Nobert Mao asubirwa okusisinkana omubaka Betty Nambooze nabalala abagaana okwetaba mu ntekateeka yokwegatta eno.
Bwabadde ayogerako naffe omukwanaganya wemirimu nokutegeka George Fred Kagimu nga ye mayor wa munispaali ye Mukono agamba nti balindiridde ebinaava mu nsisinkano eyo.