Ab’ekibiina kya FDC balangiridde nga bwebatajja kukkiriza nkolagana yonna n’eyali akulira ba mbega ba gavumenti Gen David Ssejusa.
Ssejusa yali yawandiikira aba FDC ng’asaba okubasisinkana bateese ku ngeri y’okukwataganamu okuwangula okulonda kwa 2016 era nga kino yakikozedda eri DP UPC ne Jeema
Omwogezi wa FDC John Kikonyogo agamba nti ng’ekibiina basazeewo obutakolagana ne Ssejusa oba munnamaggye yenna atannawummula
Kikonyogo wabula agamba nti tebasobola kutangira ba memba mu kibiina kukolagana naye mu mbeera z’obuntu