Bya Damalie Mukhaye
Abekibiina kya FDC batanudde okubanja obwenkanya eri abakyala abattibwa mungeri eyomujjirano mu bitundu bye Nansana ne Entebbe mu district ye Wakiso.
Amaloboozi gaabwe gaze ngegwanga lyetegekera okukuza olunnaku lwabakyala.
Bwabadde ayogera ne banamwulire ku kitebbe kyekibiina e Najjanakumbi, omwogezi wekiwayi kyabakyala Sarah operu ategezeza nti mpaawo kyali kitukiddwako waddenga bawulira nti aba FBI begattako okunonyereza.
Ono alabudde gavumenti nti ngabakyala mu gwanga bandikolawo akatiisa, kuba bbo balabika balemererddwa.
Abakazi abasoba mu makumi 20 bebattibwa omwaka oguwedde.