
Bya Rita Kemigisa,
Ekitongole kya Uganda Media council, kivunayizibwa ku kulungamya emirimu gyamwulire kyongezaayo ssalessale, wokuwandiisa eri bannamawulire abagenda okusaka amawulire gókulonda kwomwaka ogujja
Kino kidiridde bannamawulire okwekubira enduulu nti ennaku ezabaweebwa okwewandisizaamu ntono nyo nga bamu tebaliwo bagenda mu bitundu ebyewala okusaka amawulire mu bavuganya kubwa pulezidenti
Akakiiko kaali katekawo ennaku zomwezi 21 omwezi guno nga nsalensale owókuwandisizako bonna abanasaka amawulire mu kulonda okujja
Kati ssentebe wakakiiko kano, Paul Ekochu agambye nti oluvanyuma lwókwebuuza ku kibiina omwegatira abasunsuzi bamawulire, basazeewo okwongerayo ennaku okutuusa nga 31st omwezi guno, kisobozese buli munnamawulire okwewandiisa bafune n’ebibogerako
Wabula alabudde emikutu gyámawulire nti bweginalemererwa okuwandiisa abasunsuzi, ba puloduusa nábakozi babwe bakukyejusa