
Gavumenti erangiridde olunaku lw’okubiri ssabbiiti ejja lwakuwummula.
Ekiwandiiko ekivudde eri minisita akola ku nsonga z’abakozi ba gavumenti era amyuka ssabaminisita asooka Henry Kajura y’alangiridde nga ku lw’okubiri bweruli olw’okuwummula.
Olunaku luno lwalangirirwa gavumenti ng’olukulu buli mwaka okujjukira ssabasumba wa Kampala Janan Luwum.
Ono yattibwa ku mulembe gwa Idi Amin Dada nga yali mulwanirizi w’eddembe kayingo era yoomu ku bakulembeze abaatuulira Amin ku nfuga ye embi