Akutte bendera ya FDC ku bukulembeze bw’eggwanga Dr Kiiza Besigye agamba nti abakulembeze abagaala okwekkusa bokka beebasinze okukonzibya ebyenfuna by’eggwanga.
Ng’ayigga akalulu mu kitundu kye Makindye Ssabagabo, Besigye agambye nti abakulembeze bangi bafa ku mbuto zaabwe era bamalirizza nga babbye ensimbi za gavumenti.
Anokoddeyo ekitongole ky’ebyenjigiriza ky’agamba nti kisigadde kisereba lwankozesa ya nsimbi enkyaamu.
Agamba nti ensimbi zisigadde mu mikono gy’abantu ba lubatu ate ng’abalala beyaguza lujjo.
Besigye agambye nti abantu okuli abasomesa, abasirikale n’abapoliisi basasulwa bubi nga bonna bonna wakubalowozaako
Besigye ayaniriziddwa nasiisi w’omuntu obwedda akwatiridde ku makubo buli gy’ayita.