Skip to content Skip to footer

Ab’e Masaka bakyasattira olw’ettemu

Bya Gertrude Mutyaba

Oluvanyuma lw’abazigu okulumba ekyalo kye Kyabakuza nebatema abantu, abatuuze mu kitundu kino bayisizza ekiteeso okusasula ensimbi okulaba nga b’ongere okunyweza eby’okwerinda.
Abatuuze kino bakituuseeko mu lukiiko olw’atudde akawungeezi ka ssande  nebakkiriza okusasulira abavubuka bakanyama abanaasulanga nga balawuna ekitundu kyabwe.
Sentebe w’akabuga ke Kyabakuza Francis Mawanda agamba nti kino bakituuseeko oluvannyuma lw’abatuuze okusaba obukuumi obw’enjawulo basobole okufuna ku tulo.

Ye sentebe we gombolola ya Kimaanya-Kyabakuza Matia Kakooza agamba nti kino balina okukikkanyako ng’olukiiko lw’e gombolola ye lutudde.

Omubaka wa Palamenti owa Municipaali ye Masaka agamba abadde tasobola kukoma ku bantu kw’egyamu nsimbi kyokka n’asaba gavumenti esitukiremu ku nsonga eno kuba basula bakukunadde.

Leave a comment

0.0/5