Bya Opio Sam Caleb
Nga kampeyini zikomekerezebwa olunaku lwaleero, Omukulembeze w’eggwanga Yoweri Kaguta Museveni olwaleero ayolekedde Kamuli okukubira munna NRM Rehema Watongola kampeyini ku kifo ky’omubaka w’ekitundu kino.
Pulezidenti azze akubira ab’ekibiina kye kampeyini mu bitundu ebyenjawulo naddala mu kuddamu okulonda
Pulezidenti Museveni asuubirwa okukuba enkungaana wali ku ssomero lya Buterimire Primary school .
Watongola avuganya ne munna FDC Salaam Musumba, n’abesimbyewo ku lwabwe Samuel Walujo,Prossy Naikoba, ne Michael Kiboone .
Akulira eby’okulonda ku disitulikiti eno Gracious Aryaija asabye bonna abesimbyewo okwewala okuyisa mu budde obwabaweebwa mu kunonya akalulu.
Watongola yagobwa mu palamenti oluvanyuma lwa Musumba okumuwawabira nti empapula ze ez’obuyigirize ziriko akabuuza kkooti kyeyazuuloa nti ddala kituufu.
Wabula oluvanyuma Watomgola yabitereeza era n’addamu okuwangula akamyufu k’ekibiina okudda mu lwokaano