Bya Damali Mukhaye
Munnabyanjigiriza ow’ettendekero ekkulu erye Makerere ajjukirwa enyo okweyambula nga akaayanira ofiisi Dr. Stella Nyanzi asuubirwa mu kkooti olwaleero olw’okuvvoola mukomukulembeze w’eggwanga era minisita w’ebyenjigiriza.
Omwogezi wa poliisi mu kampala n’emiriraano Emilian Kayima akaaksizza ng Dr Nyanzi bw’avunanibwa emisango gy’okukozesa obubi compyuta n’akozesa olulimi oluvuma abantu nga era yamenya etteeka lya compyuta erya 2011 mu by’empuliziganya.
Nyanzi yakwatibwa ku lwokutaano abantu abaali mu ngoye ezabulijjo nga era akyakuumibwa ku poliisi ye Kira.
Nyanzi yakolokota mukomuklulembeze w’eggwanga era minisita w’ebyenjigiriza olwokutegeeza nga gavumenti bwetalina nsimbi zakugulira bawala abali mu massomero pad zebakozesa nga bali mu nsonga z’ekikyala wamu n’okulabula abazadde abateeka abaana ku boda nga bagenda ku massomero.
Okuva olwo Nyanzi yayimirizibwa okuva ku mulimugwe e Makerere nga bamulanga kuvvoola Muntu wakitiibwa.
