Bya Damali Mukhaye
Eyavuganyako ku bukulembeze bw’eggwanga mu kalulu aka 2016, Helton Joseph Mabiriizi awakanyizza ennogosereza mu ssemateeka akawayiro 102/b akulubiridde okujja ekkomo ku myaka gyomukulembeze we gwanga.
Mabirizi abadde mu lukungaana lwabannamawulire olutedde e e Mengo, nalabula bann-Uganda nti ssinga banakiriza akawayiro kano, okujibwa mu ssemateeka egwanga ligenda kuba litundidwa mu mikono gyabanakyemalira.
Wano Mabiriizi agambye nti tagenda kukiriza muntu yena kuzanyira ku semateeka wa gwanga wakiri okuffa n’omuntu.
