Skip to content Skip to footer

Munna UPC Edward Rurangaranga Afudde

Kikasiddwa nga munna UPC eyaliko ssentebe w’ekibiina kino mu gwanga lyonna Meja Edward Rurangaranga  afudde ku myaka egy’obukulu 85.

Musajja mukulu ono afiiride mu maka ge agasangibwa mu district ye Shema.

Okusinziira ku mukyala we Winifred Rurangaranga, muzeeyi abadde ne’birwadde ebiwera okuli  pressure ne sukaali, nga mu kiro ekikesezza olwaleero embeera yatabuse, okukakana ng’afudde ku makya ga leero

Ebyafaayo birega nti Maj. Edward Rurangaranga, yaliko minister owa government eze’bitund wakati wa 1981-1985 songa yo’mu ku bajaasi abaduumira ekibinja ekyamanyika enyo nga Kikos Maalum ekyava mu gwanga lya Tanzania okukakana nga bavunise government ya Idi Amin  wakati wa 1978 ne 1979

Ono era yaliko ssentebe wekibiina kino ku mulembe gwa Amb. Olara Otunnu, wakati wa 2013-2012.

Bwo obubaka bwekibiina obuteredwako omukono gwa Okello Lucima, nga ye mwogezi w’ekibiina ekibiina kikungubagidde omugenzi, kubanga abadde mpagi luwaga mu kibiina.

Bano bagamba nti Maj Rurangaranga, abadde mu kulemebeze wambala, nga okufa kwe tekukosezza kibiina kyokka wabula ne gwanga lyonna.

Zzo entaketaake zo’kuziika nokukungubaga zibadde tezinamanyika.

Leave a comment

0.0/5