MUBENDE
Bya Alex Tumuhimbise
Poliisi ye Kakumiro etandise okuyigga abantu abatanategerekeka abakakanye ku sentebe w’ekyalo Kadiki nebamukuba amayinja okukakana ng’afudde.
Omugenzi ategerekese nga Kamuseni Katule , ng’abatemu bamulumbye mu baala nebamukuba amayinja okutuusa lw’afudde
Ababadewo bagamba nti abatemu bano basoose kusinziira wala nebatanula okukanyuga amayinja ku baala, bweyafulumye nebamutabukira okukakana ng’afudde.
Ayogerera police mu kitundu kino Julius Hakiza agamye nti kino kyabadde kikangabwa kyamanyi, wabula nga abakikoze bantandise okubayigga.
