LUGAZI
Bya Ivan Ssenabulya
Police ye Lugazi mu district ye Buikwe etegeezeza nga bwekutte musajja mukulu owemyaka 50 ngno musawo wakinnansi lwakusobya ku kawala akemyaka 15 ate nakattikka nolubuto.
Omukwate nga mutuuze ku kyalo Musibo , kigambibwa nti yakakana ku kawala kano akaali kasoma mu kibiina ekyokuna ngali ne muganda we nakakweknyakwenya okukajja ewaabwe nakaleeta mu maka ge nga yefudde akayamba, wabula yakatyumanga entakera mu nnimiro gyeyakansanga nakasobyako.
Kati ono okukwatibwa kyadiridde bazadde b’omwana ono okutemya ku police okukakana ng’emuyodde
Ayogerara poliisi mu kitundu kya Ssezibwa Hellen Butoto akaksizza okukwatibwa kwomusajja ono, nategeeza nti bakugenda mu maaso okunonyererza.
Wabula yye omukwate bwetwogedeko, ngali ku poliisi bino byonna byebamulumiriza abyeganye.