LUWEERO
Bya Ruth Anderah
Omulamuzi wa kooti ento mu district ye Luweero Charles Sserubuga akirizza omubaka we Ruhinda okweyimirirwa, oluvanyuma lwokumala emyezi 2 mu kkomera.
Doziyo Kahonda okuteebwa amaze kuwaayo akakalu ka kooti ka mitwalo 50 ezitali za buliwo, songa 3 abamweyimiridde basabiddwa obukadde 5 nga tezibadde zabuliwo.
Kati ono alagiddwa okudda mu kooti nga September 14th 2017.
Kahonda avunanibwa gwakukozesa biwandiiko bikyamu okuyingira mu ttendekero lya Ndejje University, ngeno geyafunira degree.
Kahonda yasooka nakirizibwa okweyimirirwa sabiiti ewedde mu kooti ye Jinja kyoka nazibwa mu kkomera e Kirinya olwokuba yali tanafuna kweyimirirwa okuva mu kooti eye Luweero, nayo gyawerennemba nemisango egyamuvunaanibwa.