MBUYA-KAMPALA
Bya Juliet Kigongo
Abatuuze be Mbuya abali mu 800 batutte ekitongole kya Kampala Capital City Authority mu mbuga zamateeka olwokubasenda, okuva webaali batudde ku ttaka lyekitongole kye ntambula ye ggaali yomukka ekya Uganda Railways Corporation Rift Valley kyebagamba nti kyakoebwa mu bukyamu.
Abatuuze bano abakulembeddwamu Ali Kiberu badukidde mu kooti enkulu ekola kubye ttaka nga bagamba nti okuva mu mwaka gwa 1950, babadde basenze abamli mu mateeka, nga nanyini ttaka gwebamanyi kyekitongole kya Uganda Railways Corporation Rift Valley.
Okusinziira ku biwandiiko ebirabiddwako, bano bagamba nti mu mwaka gwa 2012 abakulu mu kitongole kye gaali yomukka babatukirira nebabategeeza nga bwebaali bagenda okubaliyirira babasengule, okusobola okuzimba enganzikiro ye gaali yomukka eya Standard Gauge Railway.
Abatuuze bagamba kyali kimenya mateeka, kubanga bafuna ekiragiro kya kooti ekyali kiyimiriza ebyokubasengula.
Kati mungeri emenya amateeka, ebbanga eryali lilambikiddwa lyali terinagwako bagamba nebabalumba okusanyawo ebyabwe.
Kati bano bagala KCCA ebaliyirire obuwumbi 38, olwebitu byabwe ebyayononebwa nebyabbibwa.