Bya Shamim Nateebwa ne Samule Ssebuliba
Ba nakazadde abayonsa basabiddwa okwewala ebiberalikriza, banywe nyo amazzi basobole okubeera namabeere agamala.
Obubaka buno buzze, nga Uganda olwaleero yegasse ku nsi yonna okukuza wiiki ennmaba eyokuyonsa etandise olwaleero enakomekerezebwa nga 8 omwezi guno.
Omusawo Catherine Nanozi, omukugu mu byendya ategezezza Dembe FM, nti okwerakirira nomutima okwewanika nobutanywa mazzi gamala kivirako amabeere okubula mu bakyala.
Awabudde nti omukyala ayonsa atekeddwa okunywa amazzi liita 2 nekitundu buli lunnaku.
Kati ebiralala ebikulu kwekumanya ekifo ekituufu omwana kyalin okuberamu ngayonka.
Omusawo Benedict Nassuna, omuzalisa okuva mu ddwaliro ekkulu e Mulago, ategezezza nti maama alina okumukwata obulungi, okwewala amabeere okumutuga.