Bya Samuel ssebuliba.
Ssekabaka Mwanga ayogedwako nga omusajja eyayagala ennyo obuganda, naatuuka n’okuyiwa omusaayi gwa mikwanogye, nga amakulu kwali kulaba nga obuganda busigala kitole.
Bwabadde alamboojja ebyafaayo bya Ssekabaka Mwanga wano ku Hotel Africana, Prof, Lwanga Lunyiigo, nga ono aludde nga akola okunonyereza ku ssekabaka Mwanga, agambye nti Mwanga yali musomi nga n’erinya alina elya Daniel naye weyatuukira okuta abasomi nga alaba obwakabaka bugwawo
Prof agambye nti ediini nga esensedde Obuganda , abasomi baatandika okuwaganjala, nebatuuka nobutassa kitiibwa mu biragiro bya mwanga, kale kino kyamuviirako okutaama okukakana nga asse abasomi.