Bya Julius Ocungi
Wano ku nsalo ye gwanga lya Uganda ne Sudan, agavaayo galaga nga eby’okwerinda bwebyongeddwamu amaanyi, nga kino kidiridde abateberezebwa okubeera abanyazi b’ente okuva mu Sudan okukuba omutuuze mu Lamwo nebamutta.
Gwebasse ye Johnson Olweny ow’emyaka 45 omutuuze we Lutuko, nga kino kisangibwa mu gombolola ye Madi Opei.
Jonathan Rutabingwa nga ono ye mubaka wa president mu bitundu bino agamba nti abaakoze kino baamaze nebaduka n’ente okukakana nga beesozze e kitundu kye Torit state.
Ono agamba nti bano baasobye nebeesogga uganda nga bayitira mu bitundu nga Agoro ne Madi-Opei, nga eno wewajjdde entalo.