Bya Samuel ssebuliba.
Nga eyaliko omukulembeze we gwanga lya America Barack Obama akyali kubugenyi bwaliko wano mu Kenya, abakulembeze baabansi ba Somalia abali ku Kenya basabye okuwayaamu naye.
Mohamed Hassan Mumin, nga ono munansi wa Somalia mu 2006 yasisinkanna Obama nga akyali senator wa Illinois namwambaza omudaali ogw’emirembe.
Bwabadde ayogerako n’olupapula olwa daily Nation, Mumin agambye nti aludde nga alwana okulaba Obama naye nga bigaanye, wabula kuluno ayagala amusisinkane boogere ku nsonga z’okuzza emirembe mu Somalia.
Kinajukirwa nti Obama ali Kenya kubugenyi bwanaku 2, era nga yabutandise ggulo.