Bya Ruth Anderah.
Abasajja abawerera ddala mukagaana obakwatibwa ku misango gy’okusobya ku abaana abawala abatanetuuka bawonye ekkomera oluvanyuma lwa ssabawabi wa government Mike Chibita okubajjako emisango.
Okisinzira ku kiwandiko ekireteddwa mu kkooti enkulu mu maaso g’omulamuzi Jane Francis Abodo, abasajja bano bazza emisango mu mwaka gwa 2014 mu bifo eby’enjawulo mu Kampala wamu ne wakiso.
Akiikiridde Ssabawabi wa government , Shakira Nalwanga agamba nti abasajja bano baasobya ku baana abali wakati w’emyaka 2 ne 3 naye balemereddwa okufuna abajuliri ababalumika kubanga family z’abaana bano basenguka nebadda mu bifo ebirala ebitamanyikiddwa.