Poliisi ye Kyenjojo eriko omusajja ow’emyaka 54 gwekutte lwakutuga mukaziwe lwekugaana kumufumbira kyaggulo.
Akulira okunonyereza ku misango ku poliisi ye Kyenjojo Ibra Bataasi agamba omukwate ono yafulumye ne mukaziwe okuva mu bbaala oluvanyuma omwami n’agulayo kilo yenyama omukyala afumbe.
omukyala yaganye okufumba enyama nga agamba akooye sso nga bonna batamidde n’ekyaddiridde nguumi n’amutuga n’amutta.
Omugenzi ategerekese nga Tumusiime.