Bya Benjamin Jumbe
Gavumenti esabiddwa, okutwala obuvunayizibwa ku byenjigiriza ebisokerwako, naddala mu baana abato.
Omulanga gukubiddwa, akulira ekitongole kya High sound for Children, Hadija Mwanje mu kiseera ngebula mbale olusoma olusooka mu mwaga lugulewo.
Bwabadde ayogera ne banamwulire mu Kampala, Mwanje agambye nti etteeka lyebyenjiriza erya 2008, litekawo okusoma okwa nasale, nayenga wetwogerera amasomero gano gali mu mikono gyabwananyini, atenga nagamu tegatukanye na mutindo.
Agambye nti, buvuanyzibwa bwa gavumenti okukasa nti buli ssomero lya Primary, liriko ekifo ekirabirira nokuwa abaana okusoma okusokerwako.