Bya Shamim Nateebwa
Polisi ye Nateete eriko omuwala gw’ekutte nga emuteberezza okuyiira muganzi we Asidi eyamukyaye.
Omuwala ono ategerekesseko nga Sarah kigambibwa yayiridde Husein Kato asidi oluvanyuma lw’kumukyawa sso nga ye abadde akayamwagala.
Kati ono aguddwako gwakugezaako kutta Muntu wabula nga ye Kato ali mu ddwaliro lye Kiruddu gy’ajanjabibwa era nga poliisi yaguddewo dda omusango o ku fayiro 33/18/03/2017 nga omuteberezebwa yagalidwa nga nokunonyerezza kukyagenda kugenda mu maaso