Bya Ruth Andera
Kkooti eriko omuvubuka gw’esibye emyaka emyaka 7 lwakusobya ku mwana wamukamawe mu kinabiro.
Ssuuna Mark 22years nga mukozi mu maka g’abazadde b’omwana ono ow’emyaka omukaaga agambibbwa okukasendasenda bwekaali kazanya nebanne baako nakatwala mu kinaabiro nakamalirako ejjakirizi.
Ssuuna asimbiddwa mu maaso g’omulamuzi Yasin Nyanzi mu kkooti enkulu wano mu Kampala, amusibye emyaka 7 oluvanyuma lw’okukiriza omusango mu nkola eya plea bargain.
Omusango yaguza 22rd May 2016 wano mu Kampala.
