Bya Damali Mukhaye
Eyakwatira ekibiina kya FDC bendera ku bwapulezidenti Dr Kiiza Besigye akubye ab’ebyokwerinda e Kimooni n’agenda ku poliisi ye Kira okukyalira Dr Stella Nyanzi asuubirwa mu kkooti olwaleero.
Besigye abadde ne loodi meeya Erias Lukwago, Ingrid Turinawe Wafula Oguttu n’abalala.
Wabula bano bagaaniddwa okulaba Nyanzi oluvanyuma lw’akafubo n’atwala poliisi yekitundu kino.
Dr Stella Nyanzi yakwatibwa oluvanyuma lw’okuvvoola mukomukulembeze w’eggwanga era minsiita w’ebyenjigiriza ku mutimbagano gwa yintaneti.