Skip to content Skip to footer

Gavumenti yakumalawo ekibba ttaka

File Photo: Ekibangirize kye Ttaka
File Photo: Ekibangirize kye Ttaka

Gavumenti ya NRM yeeyamye okumalawo enkaayaana z’ettaka mu ggwanga.

Ng’ayogerako eri abawagizi be e Nakawuka mu disitulikiti ye Wakiso, Museveni agambye nti abantu abali ku ttaka lya gavumenti bangi abanonyebonye nga basengulwa nga kino kirina okukoma.

Agambye nti gavumenti wakussaawo ensawo enayamba abantu okufuna ebyaapa

Ono era asuubizzza okukuba kolaasi oluguudo oluva e Busiro okutuuka e Mpigi Nakawuka Kasanja Kisubi ate balusseeko amasanyalaze.

Museveni kati agenda Masuulita muu Busiro North ne Makindye Saabagabo mu municipaali ya Entebbe.

Leave a comment

0.0/5