Skip to content Skip to footer

Aba NRM baakulonda abakulembeze mu district empya.

Bya Ben Jumbe.

Ekibiina ekya NRM kitegeezeza nga  bwekigenda okutekateeka okulonda kw’abakulembeze baakyo mu district empya ezakatondebwawo , nga kino bategese okukikola mu myezi 2 egijja.

Kino ekyama kibotoddwa akola ku by’ensimbi mu kibiina kino Dr. Hassan Wasswa Galiwango  bwabadde asisinkanyeemu abakungu ba NRM okuva mu bitundu bye gwanga ebyenjawulo abasoba mu 100

Ono agamba nti ezimu ku distrct ezigenda okufuna abakulembeze kuliko Pakwach, Bunyangabu, Kyotera, Namisindwa ne Rukiga, songa yo  Mityana ne Budaka wagenda kubaayo okulonda okw’okujuza ebifo byaba ssentebe abaafa.

Leave a comment

0.0/5