Mu disitulikiti ye Kamwenge abamu ku babaka ba palamenti batandise okukumakuma abawagizi b’ekibiina baleme kukyabulira oluvanyuma lw’amawulire g’okutulugunya meeya waabwe Geofrey Byamukama.
Omubaka omukyala owa disitulikiti eno Dorothy Nsheija Kabarisya n’owe ssaza lye Kibale Cuthbert Abigaba Mirembe bebazze mu balonzi okubawooyawooya olw’abamu okwecanga nti bandyegatta ku bibiina ebirala nga balumiriza gavumenti okutulugunya meeya waabwe .
Meeya Byamukama yakwatibwa azze wano mu Kampala n’atwalibwa ku poliisi ye Nalufenya nga era yenna y’alabika nga bwebasogoddemu amaviivi n’obukongovvule.
Ababaka bagamba gavumenti yatandise dda okunonyereza ku nsonga eno kale ebyokwecanga babiveeko.
Wiiki ewedde waliwo abaserikale ba poliisi abagulwako omusango gw’okutulugunya era nebasindikibwa ku alimanda e Luzira.