Bya Moses Kyeyune.
Nampala w’ekibiina kye NRM omukyala Ruth Nankabirwa ategeezeza nga kaweefube w’okunoonya akalulu k’ekikungo gwebatongozza bwatalina nsimbi zigenda kumuvugirira
Kinajukirwa nti bano baasinzidde kiboga ku lunaku olwa sunday oluwedde nebategeeza nga bwebatongozezza kaweefube ow’okusaba bannayuganda bakirize omukulembeze we gwanga afuge emyaka 7 okuva ku myaka 5 gyabaddde afuga buli kisanja.
Kati twogedeko ne Nankabirwa n’agamba nti bakyatubidde ne kaweefube ono, wabula nga basubira nti bajja kufuna okudukirirwa okuva eri abaagaliza ekibiina ebirungi.
