KAMPALA
Bya Shamim Nateebwa
Abakulira omulimu gw’okusabaza abantu mu gwanga abegatiira mu kibiina kyabwe ekya KOTSA batubidde n’emigugu gya basabaze baabwe egisukka mu 2000 nga egibalirirwamu obukadde 70.
Kino kidiridde abasazze naddala abaana ba’masomero ababdde bawummula okugyirabira mu mmotooka ezenjawulo, songa nabamu ababddenga bajiwa abasituzi bemigugu ate nebebulako.
Ebimu ku byebasinga okubeera nabyo bagamba kuliko kkeesi z’e ngoye, ebitabo bya’bayizi , TV, Densti, Passporta, emifaaliso, pamiti ne kalonda omulala.
Kati omukulembezze wa KOTSA Yasin Sematimba alajanidde abasabaze okujja bakime emigugu gyabwe kubanga balina gyebamaze nagyo emyaka egisukka mu ebiri.
Mungeri yeemu alabudde abantu okujja nga bamanyi emigugu gyabwe nalabula nti, ssinga kakutanda nojja ngolimba agamba ojja kutlwalibwa ngomubbi, era abamu bakutwalibwa ku poliisi.