Skip to content Skip to footer

Abaakoze obutujju e Bundibuggyo bakusasula- Museveni

Bundibuggyo sad

Pulezidenti Museveni akakasizza eggwanga nti abaakoze obulumbaganyi e Bundibuggyo bakukolebwaako ng’amateeka bwegalagira.

Pulezidenti agambye nti ebitongole ebikuuma ddembe bikola kyonna ekisoboka okulaba nti abantu bano bazuula gyebaddukidde.

Bino omukulembeze w’eggwanga abyogedde asisinkanye ababaka ba palamenti okuva mu kibiina kya NRM b’asisinkanidde mu maka ge.

Owmogezi w’akabondo kano David Bahati agambye nti gavumenti era yakusigala ng’erondoola embeera okwewala ebikolwa ebyabaddewo okuddamu okulabikako.

 

Leave a comment

0.0/5