Bya Benjamin Jumbe
Ekitongole kya Uganda redcross kizudde ebiralala ebikwata ku baana 3 abafiridde mu ubumbulukuka kwe ttaka, mu district ye Kasese.
Abagenzi kuliko Masereka John, Weasly Muhindo ne Derrick Baluku nga baana ba Modesto Masereka owemyaka 40 ne Biira Stella bwebakubiddwa enyumba bwebabadde wakati mu namutikwa wenkuba.Enjega eno ebadde mu division ye Bulembia mu kiwonvu kye Kilembe mu munispaali ye Kasese.
Bwabadde ayogerako naffe omwogezi wa Redcross Irene Nakasiita agambye nti ewmirambo gimaze okujibwawo nejitwalibwa mu ddwaliro okwongera okwekbejebwa.
Bino webijidde nga wakayita wiiki 2 abaana 2 abekyomusanvu bwebafiira mu njega yeemu ku kyalo Kyambarwa mu gombolola ye Mahango nga 14 ku ntandikwa yomwezi guno.