Bya Ivan Ssenabulya
Empologoma ya Buganda Ssabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II, akatyabaga kenkyukakyuka y’obudde nokusanawo kwobutonde bwensi akaitadde ku kuseraba kwobuntu bulamu mu bitundu.
Bino bibadde mu bubaka bwe obumusomesswa Maama Nnabagereka Sylvia Nagginda mu lukungaana olwe nnaku 2 olubadde lukwata ku buttoned bwensi, olubumbujidde mu kibuga Accra mu gwanga lya Ghana.
Agambye nti mu mpisa eyobuntu ebitundu bosobola okukolera awamu, okukuuma obutonde.
Agambye nti nti Obuntubulamu kiviira ddala munda mu bantu, nga mulimu okulumirirwa, obuvunayizibwa, empisa, ekitiibwa, obwesigwa nebiralala njolo.
Olukungaana luno lwatandika nga 29 Okitobba nga lwakomekerezeddwa polunnaku lwe ggulo,nga Maama Nnabagereka nomubaka wekitongole kya UNDP Elsie Attafuah bebakiridde Uganda.