Skip to content Skip to footer

Abaana 5 Bafiridde mu Muliro

KYANKWANZI

BYA ANDREW BAGALA

Police ebakanye nokunonyereza ku ngeri abaana okuva mu nnyumba emu gyebasirikidde mu muliro, mu Kabuga ke Butemba mu distrct ye Kyankwanzi.

Abaana bano bafudde mu budde bwekiro ekisezza olwaleero.

Omwogezi wa poliisi mu kitudu kya Wamala Norbert Ochom ategezezza nti okunonyererza kugenda mu maaso wabulanga batebereza nti omulir gwavudde ku kasubbaawa akabadde kayaka.

Abagenzi kuliko Hassan Musimbi owemyaka 12, Falidha Kakungulu owe 10, Kamiyat Nambuya owe 9, Akhram Wakholi owo 7, ne Nakituyi Hamida.

Bano babadde baana ba Mohammed Ssali, omutuuze mu kitundu kyekimu.

Kati tekinakaksibwa obanga bazadde babaaana bano, bayitibwa ku poliisi okwenyonyolako.

Wabula poliisi erabudde ekyabaana okulekebwanga mu nnyumba   budde obwekiro ate nebalekamu obutaala.

Leave a comment

0.0/5