MULAGO
Bya Shamim Nateebwa
Eddwaliiro ekulu e Mulago litubidde nomusajja atemera mugyobukulu nga 47 nomusumali inch mukaaga ogwamukubidwa mu mutwe.
Ono aletedwa muziira kisa owa boda amusanze mu kubo mubitundu bye Kawempe kyokka mu kiseera kino tayogera ng’abasawo bali mu ntekanteeka zakumulongoosa waddenga abantu be babadde tebanamanyika.
Kati guno mulundi gwakusatu mu bbanga eriyise omuntu okulabikako ku ddwaliro e Mulago nomusumaali mu mutwe.