Skip to content Skip to footer

Abaana 9 babuze ku bazade baabwe

Bya Ndaye Moses ne Damalie Mukhaye

Okusaba kutandise ere akugenda mu maaso ku biggwa byabajulizi byombi e Namugongo.

Ku kiggwa kyaba-Angalican kukulembeddwamu ssabalabirizi we kanisa mu gwanga lya Kenya his Grace Jackson Ole.

Eno diocese 5 okuli Luwero, Mityana, Central Buganda, Mukono, West ne Central Buganda bebategese.

Essaawa yonna omukulembeze we gwanga Yoweri K. Museveni asubirwa ngomugenyi omukul, okwetaba mu kusaba kuno, nabakungu ablala mu gavumnti njolo.

Ate yyo ku kiggwa kyaba-katuliki okusaba kukulembeddwamu essaza lye Gulu, nga bakulembeddwamu Ssabasumba John Baptists Odama.

Ate ebyentambula birinnye wano mu bitundu by Kampala eri abatambuza mmotoka ne pikipiki, olwa namungi womuntu agenda e Namugongo mu kulamaga.

Abava e Nmaugongo okudda mu kibuga basasula 6,000 okuva ku 25’000 zebabaddenga basasula.

Boda Boda okukujja e Kireka okudda e Namugongo osasula wakati wa 8,000 ne 10,000 okuva ku 2,000 zebabaddenga basasula.

Okuva e Namugongo okudda e Kireka osasula 4,000 ate okudda e Ntinda osasula 1,000 ne 1,500.

Wabula ebyentambula era bisubirwa okulinnya obudde gyebunagenderera.

Zzo emmotoka zikozesa nguugo nenne, kubanga ezisinga zaasaliddwako, atenga aba pikipiki bayita mu ppanya eze ttaka.

Abaana 9 bebakabula ku bazadde baabwe Namugongo atenga wlaiwo okutya nti omuwendo gwabwe gugenda kweyongera.

Omumyuka womowgezi wa poliisi mu Kampala nemiriraano Luke Owoyesigire agambye nti kino kibaddewo ku makya gano, songa agambye nti gyebunawungerera emebeera ebeera yakayisanyo, era bangi abatera okubula mu biseera ebyo.

Asabye abantu bonna naddala abalina abaana, okubeera abegendereza.

Ate wabaddewo omulamazi omukyala, ku kiggwa kyabakatuliki gwebisobedde, bwasobeddwa mu kabuyonjo okumala kyenakana essaawa namba.

Owoyesigire agambye nti ono abadde akwamidde munda mu, kabuyonjo eyomulembe oba automatic toilet.

Ono baamutasirizza mu madinisa.

Mungeri yeemu ekitongole kya Red Cross kitegezezza nga bwekyakola ku bantu abasoba mu1000 ababadde betaaga obyambi obwenjawulo era obwamangu ku kiggwa kyabakatiliki e Namugongo.

Kenneth Kategeya yakulembeddemu abadukirize, ngagambye nti abantu 1027 bebakadukirira okuva nga 1st May abalamazi.

Kuno kubaddengako abazirise olwengendo empanvu zebatambudde, nebiralala.

Abalamazi 22 bebawereddwa ebitanda mu malwaliro e Mulago, Kiguddu ne Kawempe.

Leave a comment

0.0/5