Eyali ssabawandiisi wa NRM Amama Mbabazi alumbye eyamuddira mu bigere olw’okulemesa ababaka abesimbawo ku bwa nnamunigina okuwandiisibwa kwa ba memba okugenda mu maaso.
Olunaku lwajjo, ssabawandiisi wa NRM Justine Kasule Lumumba yategeezezza nga bwebatagenda kukkiriza kuwandiisa besimbawo ku bwa namunigina, bakiwagi abeewaggula ku kibiina kko ne bamemba b’ebibiina ebirala
Mbabazi agamba nti ssemateeka wa NRM talina w’ayogerera ku butawaandiisa bantu bano.
Mbabazi agamba nti teri Muntu asaanye kugaanibwa kwewandiisa
NRM yakutandika okuwandiisa ba memba baayo mu Kampala okuva ku lw’okutaano lwa wiiki eno.
Lwo olukiiko lwa NRM oluyitiddwa e Masaka lufumbekedde mawulire gakutulugunya munnamawulire.
Eddward Bindhe ng’akolera Uganda Radio network e Masaka asoose kugaanibwa kwetaba mu Lukiiko luno .
Munna NRM Rogers Mulindwa ono amugwiridde n’amutuga ng’amulanga kulemera mu wooteri yeemu gyebabaddemu