Skip to content Skip to footer

Ab’amafuta basanyukidde obukuumi bwa poliisi

fuel pump

Kkampuni z’amafuta mu ggwanga zaanirizza ekya poliisi okubawa obukuumi.

Olunaku lwajjo poliisi yategeezezza nga bw’egenda okwongera obukuumi eri abatambuza amafuta mu tanka oluvanyuma lw’abatujju okuddamu okuwera okulumba Uganda.

Akulira kkampuni ya VIVO Energy Uganda Hans Paulsen agamba nti nabo batandikiddewo okwongera ku bukuumi okuziyiza ennumba zonna.

Hansen era agamba nti n’omuwendo gwa tanka zamafuta agayingira eggwanga gukendedde naddala webagatikkulira waano mu kibaangirizi kya bannamakolero

Leave a comment

0.0/5