Bya Samuel Ssebuliba.
Abatuuze be Lusanja basazeewo okwetuukira mu palamenti ye gwanga nga baagala sipiika Rebeca Alitwala kadaaga ayingira mu nsonga zaabwe ez’okubagoba ku taka.
Kinajukirwa nti abatuuze abasoba bano babaagobwa ku taka lyabwe mu mwezi gwa October omusaja Mederd Kiconco agamba nti yenyini taka lino bweyabasenda era okuva olwo bababde basula mumiti ne tent entono zebaafuna okuva mu yafeesi ya ssabaminisita.
Kati bano leero beekunze nebasalawo okwetuukira mu lukiiko olukulu olw’egwanga, era wetugidde ku mpewo nga batuuse wano e Kyebando.