Skip to content Skip to footer

Abaana bana basirikkidde mu muliro

 fire guts house

Poliisi e Nakaseke eri ku muyiggo gw’omusajja akolezezza  nyumba n’atta abaana bana.

Omusajja ono kalibutemu alumbye omukyala Juliet Namugerwa n’ekigendererwa ky’okunyagulula kyokka ng’omukyala yemuludde n’adduka.

Omusajja ono olulabye bw’ati n’ayokya enyumba era nga takomye awo n’agoba omukyala okukkakkana ng’amutuusizzaako obulabe n’abaana be abalala basatu

Ayogerera poliisi y’omukitundu kino,  Lameck Kigozi agamba nti omusajja ono batandise okumuyigga era nga wakuvunaanibwa misango gya ttemu.

.

Leave a comment

0.0/5