Okuwulira emisango gy’obutujju omwafiira abantu abasoba mu 70 nga 11th July 2010 kutandise mu kkooti enkulu.
Mahmood Mugisha y’asoose mu kaguli nga ono ye emisango y’agikiriza era ali ku kibonerezo kya myaka 5 mu kkomera.
Abavunaanwa bali mu maaso g’omulamuzi Owiny Dollo.
Ku bano kuliko bannakenya 7, omutanzania 1 ne bannayuganda 5.
Bano bavunanibwa emisango gy’obutemu,okugezaako okutta abantu, obutujju ssaako n’okuyamba abatujju ba Al-Shabab