KALANGALA
Bya Gertrude Mutyaba
Poliisi e Kalangala eriko abasajja bana begombyemu obwala ababadde bayimbya abavubi ku myalo endubaale nga babanyagako ebyabwe okuli amaato, engine, obutimba n’ebirala.
Okusinziira ku mwogezi wa poliisi mu masekati ga Uganda Lameck Kigozi, agamba nti abakwate babadde bakozesa emmundu gyebatanazuula nga kigambibwa nti abavubi ku myalo bazze beekubira enduulu mpaka abana bano webaakwatiddwa.
Abakwate kuliko Shafik Mawanda, Umar Wagaba, Fred Kalungi ne Mustapha Mungoma era nga bakuumibwa ku poliisi e Kalngala nga gyebanaava okutwalibwa mu kooti okuvunanibwa emisango egy’enjawulo.