Bya Samuel Ssebuliba.
Olukiiko oludukanya Palamenti olwa parliamentary commission lutegeezeza nga bwekikanyizidwako nti ababaka abagamba nti obulamu bwabwe buli mu katyabaga baweebwe obukuumi obumala.
Bino okuvaayo kidiridde ababaka abawerako okwekubira enduulu nga bagamba nti waliwo abantu ababalondoola, nga neyakasembayo ye mubaka we Busongola North William Nzongu.
Kati mukwanukula Sipiika Reebecca Kadaga agambye nti baakikaanyizaako mu lukiiko olwatudde ku Monde nti buli mubaka ali mukutya ayogere nga bukyali afune obukuumi.