Bya moses Kyeyune.
Wabadewo akacankalano akaamanyi wali ku mulyango oguyingira palamenti, police bwetaamye nekwata ababaaka 2 okubadde Medard Lubega Sseggona ne Wilfred Nuwagaba, nga bano babade bagezaako okuyingira palamenti.
Bano okukwatibwa babade baleese ebiwandiiko ebivudde mu kooti gyebaatutte omusango nga bawawabira speaker olw’okugoba ababaka omukaaga mungeri emenya amateeka,kale nga kooti ebadde abalagidde okutegeezako speaker ne ssabawolereza wa government nti bamuwawbidde , kyoka police eyodde bayoole.
Mukaseera kano gyebatwaliddwa mpaawo yategedeyo.