Ekibiina kya NRM kitegeezezza nga bwekitagenda kuddamu kuwandiisa babaka bakiwagi mu kuddamu okuwandiisa ba memba okugenda mu maaso.
Kino kizze ng’ekibiina kino kiteekateeka okutandika okuwandiisa ba memba baakyo bonna okuva ku lw’okutaano luno
Ssabawandiisi wa NRM Justine Kasule Lumumba agamba nti bawummuzibwa akakiiko akafuzi ak’ekibiina kale nga keekalina okukola ku nsonga zaabwe
Anyonyodde mu kino okutuuka nga kibaddewo, teri mubaka yenna agenda kuwandiisibwa.
