Skip to content Skip to footer

Ababaka balya ensimbi z’okutambula

mps

Olwaleero kizuuse nti ababaka abamu tebalina mbalirira ya nsimbi ezibaweebwa okutambula

Akakiiko ka palamenti akakola ku nsonga z’ababaka olwaleero kassiddwa ku ninga okunyonyola lwaki kasirika ng’ababaka balyazamaanya ensimbi z’omuwi w’omusolo.

Ensimbi eziwerera ddala obukadde 40 zeezitaliiko mbalirira nga zino zaali zakutambuza babaka okugenda emitala w’amayanja

Omuwandiisi wa palamenti, Jane Kibirige ategeezezza nti bafubye okugamba ababaka bano okuzza ensimbi zebatwaala naye nga teri yenyeenya

Kati akakiiko akabalirira ensimbi z’omuwi w’omusolo nga kakulemberwa omubaka we Serere omukyala Alice Alaso kalagidde kanaako aka palamenti akakola ku by’ababaka okusala ensimbi zino kw’ezo ezinasasulwa ababaka bano nga zakasiimo.

Leave a comment

0.0/5