Bya Sam Ssebuliba
Ababaka ba palamenti abatuula ku kakiiko akebyenjigiriza bategezeza nti ekya gavum,enti okwongeza abasomesa ba science omusaala nebaleka abalala ebbali kikolwa kya kuboola basomesa.
Okusinziira ku ngereka yemisaala gyabakozi ba gavumenti empya, abasomesa ba sciences bakufunaga obukadde 2 songa abalala bali mu mitwalo 63 buli mwezi.
Bwebabadde basisinkanye minister webynjigiriza nemizannyo, mukomukulembeze we gwanga Janet Museveni ssentebbe wakaiiko Connie Galiwango agambye nti era ssi kyabwenkanya okusasula omukulu we ssomero akakadde 1 mu emitwalo 70 atenga absomesa be abamu basasulwa obukadde 2.
Kino ababaka bagambye nti kigenda kwongera bizibu mu byenjigiriza bya Uganda nentalo ezitaggwa mu masomero.
Wabula minister mu kwanukula, agambye nti kino kyakolebwa okwagazisa abantu obusomesa, kubanga abasinga babadde batandise kubuddukamu.
